Isaiah 43:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno bino by'agamba Omukama, oyo eyakutonda, ggwe Yakobo, oyo eyakubumba, ggwe Yisirayeli: “Totya, kubanga nkununudde; nkuyise n'erinnya lyo, oli wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda, ggwe Yakobo, eyakukola ggwe Isirayiri: “Totya kubanga nkununudde, nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakutonda, ggwe Yakobo, era eyakubumba, ggwe Isiraeri, nti, “Totya, kubanga nkununudde, nakuyita erinnya lyo, oli wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano ggwe Yisirayeli Mukama eyakutonda, agamba nti: “Totya, kubanga nakununula Nakuyita erinnya lyo, oli wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakutonda, ggwe Yakobo, era eyakubumba, ggwe Isiraeri, nti Totya, kubanga nakununula; nakuyita erinnya lyo, oli wange.