Isaiah 43:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muli bajulirwa bange,” Omukama bw'agamba, “omuweereza wange gwe neeroboza, musobole okummanya n'okunzikiriza, n'okutegeera nti nze nzuuyo. Tewali lubaale yansooka kukolebwa, era teriba mulala alinzirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama, “omuweereza wange gwe nalonda: mulyoke mummanye, munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo: Tewali Katonda eyansooka era teriba mulala alinzirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe muli bajulirwa bange, bw'ayogera Mukama, n'omuweereza wange gwe nnalonda; mulyoke mumanye munzikirize mutegeere nga nze nzuuyo; tewali Katonda eyabumbibwa okusooka nze, so tewaliba alinziririra.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe Abayisirayeli, muli bajulizi bange era mmwe Muweereza wange gwe neeroboza, mulyoke mummanye era munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo Katonda nzekka. Tewabangawo Katonda mulala yansooka kubaawo, era tewaliba anziririra.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe muli bajulirwa bange, bw'ayogera Mukama n'omuweereza wange gwe nnalonda mulyoke mumanye munzikirize mutegeere nga nze nzuuyo; tewali Katonda eyabumbibwa okusooka nze, so tewaliba alinziririra.