Isaiah 43:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabuulira ne mponya, ne nnangirira; nze, sso si lubaale w'ebweru mu mmwe; muli bajulirwa bange.” Omukama bw'agamba, “Nze Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola; nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe. Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze n'abuulira era n'alokola era n'alaga, so tewabanga mu mmwe katonda mulala; kye mubeeredde abajulirwa bange, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nayogera ebiribaawo era ne mbayamba, ne nkirangirira nga tewali lubaale yali akikoze. Mmwe bajulizi bange. Nze Mukama njogedde. Nze Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze nabuulira era nalokola era nalaga, so tewabanga mu mmwe katonda mulala: kye mubeeredde abajulirwa bange, bw'ayogera Mukama, nange ndi Katonda.