Isaiah 43:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okuva edda lyonna, ye Nze; tewali ayinza kuggya mu mikono gyange; bwe nkola, ani ayinza okukijjulula?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo; tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange. Kye nkola ani ayinza okukikyusa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, okuva mu nnaku ez'edda, Nze nzuuyo; so tewali ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange; Bwe nkola omulimu, ani okuguziyiza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era bulijjo, bwe ntyo bwe nnaabeeranga. Tewali ayinza kweggya mu buyinza bwange. Kye mba nkoze tewali ayinza kukijjulula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, omusana kasookedde gubaawo era nze nzuuyo; so tewali ayinza okuwonya mu mukono gwange: ndikola omulimu, era ani ali guziyiza?