Isaiah 43:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba, Omununuzi wammwe, Omutuukirivu wa Yisirayeli: “Olw'okubeera mmwe, nnaasindika mu Babiloni ne nzigyayo Abakaludeya bonna abaddukirayo mu maato mwe beewaanira; okuleekaana kw'Abakaludeya kulifuuka kukungubaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Ku lwammwe nditumya e Babulooni, ndeetere ab’e Babulooni bonna nga bawambe mu byombo ebyabeewanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Ku lwammwe n'atuma e Babbulooni, era ndibaserengesa bonna ng'abadduse, be Bakaludaaya, mu byombo eby'okusanyuka kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Omununuzi wammwe, era Omutuukirivu wa Yisirayeli agamba nti: “Okubawonya mmwe ndisindika eggye okulumba Babilooni. Ndimenya ebisiba emiryango gy'ekibuga, era n'okuleekaana kw'Abakaludaaya okubadde okw'essanyu, ndikufuula kutema miranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Ku lwammwe natuma e Babulooni, era ndibaserengesa bonma ng'abadduse, be Bakaludaaya, mu byombo eby'okusanyuka kwabwe.