Isaiah 43:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, nkola ekiggya, kigenda kivaayo; gwe tokiraba? Nkola oluguudo mu ddungu, n'emigga mu nkoola,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, nkola ekintu ekiggya! Kaakano kitandise okulabika, temukiraba? Nkola oluguudo mu ddungu ne ndeeta emigga mu lukoola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, nkola ekintu ekiggya; kaakano kitandise okulabika, temukiraba? ndikuba oluguudo ne mu lukoola, ne ndeeta emigga mu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kati mutunule mulabe: ŋŋenda kukolawo ekiggya, era nakitandiseeko dda. Nja kutema oluguudo mu nkoola, ndeete n'amazzi mu ddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndikola ekigambo ekiggya kaakano kirirabika; temulikimanya ndikuba oluguudo ne mu lukoola, ne ndeeta emigga mu ddungu.