Isaiah 43:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebisolo eby'ettale bingulumiza, ebibe ne maaya, kubanga ntadde amazzi mu ddungu; nkola oluguudo mu ddungu, n'emigga mu nkoola, mpe ekyokunywa abantu bange be neerondera,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa, ebibe n’ebiwuugulu; kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu, n’emigga mu lukoola, okunywesa abantu bange, abalonde bange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensolo ez'omu nsiko zirinzisaamu ekitiibwa, ebibe ne bamaaya; kubanga ngaba amazzi mu lukoola n'emigga mu ddungu, okunywesa abantu bange, abalonde bange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ensolo ez'omu ttale zinanzisaamu ekitiibwa; ebibe ne bimmaaya bintendereze nga ndeese emigga mu ddungu, okuwa amazzi abantu bange abalondemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensolo ez'omu nsiko zirinzisaamu ekitiibwa, ebibe ne bamaaya kubanga ngaba amazzi mu lukoola n'emigga mu ddungu, okunywesa abantu bange, abalonde bange: