Isaiah 43:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewandeetera buliga bwa bitambiro ebyokye, yadde okungulumiza n'ebyonziira byo. Nze sikukaluubirizanga na bitone bya buwunga, yadde okukuzitoowereza nga nkusaba obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tondeetedde ndiga ey’ebiweebwayo ebyokebwa, wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo. Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke wadde okukukooya n’obubaane.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tondeetedde ndiga ez'ebiweebwayo ebyokebwa; so tonzisaamu kitiibwa na ssaddaaka zo. Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo, wadde okukukooya n'obubaane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temwandeetera ndiga zammwe ez'ebiweebwayo ebyokebwa, wadde okunzisaamu ekitiibwa nga mumpa ebitambiro. Sibakaluubiriranga nga mbasaba ebiweebwayo, era sibakooyanga nga mbapeeka obubaane obw'okunnyookereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tondeeteranga nsolo ntono ey'ebibyo ebiweebwayo ebyokebwa; so tonzisaamu kitiibwa na ssaddaaka zo. Sikuweerezesanga n'ebiweebwayo so sikukooyesanga na mugavu.