Isaiah 43:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tonguliranga na ssente zo lumuli lwa kawoowo, yadde okunzikusa amasavu ag'ebitambiro byo. Wabula onzisizza mugugu gwa bibi byo, onkooyezza na misango gyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo wadde okunzikusa n’amasavu ga ssaddaaka zo, naye onkoyesezza n’ebibi byo, era n’onteganya n’obutali butuukirivu bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tonguliranga mmuli mpoomerevu na ffeeza, so tonzikusanga na masavu ga ssaddaaka zo; naye ggwe onkoyesezza n'ebibi byo, n'onteganya n'obutali butuukirivu bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temwawaayo ssente kungulira bikajjo ebiwoomu, era temwanzikusa na masavu ga nsolo zammwe. Naye mu kifo ky'ebyo, mwantikka mugugu gwa bibi byammwe, mwankooya na nsobi zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tonguliranga mmuli mpoomerevu na ffeeza, so tonzikusanga na masavu ga ssaddaaka zo naye ggwe wampeerezesa n'ebibi byo, wankooyesa n'obutali butuukirivu bwo.