Isaiah 43:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyennava nnyonoona abakungu b'omu Kitukuvu kyange, Yakobo ne mmuwaayo asalirwe okuzikirizibwa, ne Yisirayeli ajolongebwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyendiva ndiswaza abakungu ba yeekaalu yo, era ndiwaayo Yakobo azikirizibwe ne Isirayiri aswazibwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyendiva nswaza abakulu ab'omu watukuvu, era ndiwaayo Yakobo okuzikirizibwa ne Isiraeri okuswazibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyendiva mmalamu ekitiibwa abalabirira Ekifo Ekitukuvu. Bazzukulu ba Yakobo ndibawaayo okuzikirira; ndireka Abayisirayeli okuvumibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyendiva nvumisa abakulu ab'omu watukuvu, era ndifuula Yakobo ekikolimo ne Isiraeri ekivume.