Isaiah 43:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga oli wa muwendo mu maaso gange; ossibwamu ekitiibwa era nkwagala; mpaayo abantu mu kifo kyo, mpaayo amawanga olw'obulamu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa, era kubanga nkwagala, ndiwaayo abasajja ku lulwo mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga wali wa muwendo mungi mu maaso gange, era wa kitiibwa, nange nnakwagala; kyendiva mpaayo abasajja ku lulwo n'amawanga ku lw'obulamu bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiwaayo abantu n'amawanga okuwonya obulamu bwo, kubanga ku Nze oli wa muwendo nnyo era waakitiibwa, era nkwagala nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga wali wa muwendo mungi mu maaso gange, era wa kitiibwa, nange nakwagala; kyendiva mpaayo abasajja ku lulwo n'amawanga ku lw'obulamu bwo.