Isaiah 43:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndigamba amambuka nti: ‘Baweeyo.’ N'amaserengeta nti: ‘Tobaziyiza.’ Batabani bange baggye ewala, ne bawala bange ku nkuzi y'ensi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’ n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’ Leeta batabani bange okuva ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ndigamba obukiikakkono nti, Waayo b'olina; n'obukiikaddyo nti, Tobagaanira; leeta batabani bange okuva ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y'ensi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndigamba obukiikakkono okubata, n'obukiikaddyo obutabalemera; abantu bange abasajja n'abakazi balekebwe badde mu nsi yaabwe okuva mu nsi ez'ewala ne mu buli kasonda ak'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ndigamba obukiika obwa kkono nti Waayo; n'obukiika obwa ddyo nti Togaana nabo; leeta batabani bange okubaggya ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y'ensi;