Isaiah 43:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
buli yenna ayitibwa erinnya lyange, gwe natonda olw'ekitiibwa kyange, gwe nabumba ne mmukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange, gwe natonda olw’ekitiibwa kyange, gwe nakola gwe natonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
buli muntu eyatuumibwa erinnya lyange era gwe nnatondera ekitiibwa kyange; gwe nnabumba, gwe nnatonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli omu ku bo namuwa erinnya, wange, namutondera kumpa kitiibwa. Ddala ekyo kye namubumbira ne mussaawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
buli muntu eyatuumibwa erinnya lyange era gwe nnatondera ekitiibwa kyange; nze namubumba; weewaawo, namukola.