Isaiah 43:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga gonna gakuŋŋaane, abantu bajje wamu. Ani mu bo ayinza okulanga kino, n'alangirira gye tuli ebyakulembera? Kale baleete abajulirwa baabwe bakakase obutuufu bwabwe, n'abalala bawulire, bagambe nti: ‘Kituufu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga gonna ka gakuŋŋaane n’abantu bajje. Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino? Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo? Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amawanga gonna gakuŋŋaanyizibwe wamu n'abantu bajje; ani ku bo ayinza okubuulira ekyo n'atulaga ebyasooka okubaawo? Leka baleete abajulizi baabwe okukakasa nti baali batuufu, oba abawulira bagambe nti, “ Bya mazima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muyite ab'amawanga gonna, abantu bakuŋŋaane wamu. Ani mu balubaale baabwe ayinza okutubuulira ebyo ebigenda okubaawo, n'atubuulira n'ebyo ebyabaawo edda? Baleete abajulizi baabwe okubakakasa nti batuufu. Boogere nti bye baawulira, ddala byali bya mazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amawanga gonna gakuŋŋaanyizibwe wamu n'abantu beetabe: ani ku bo ayinza okubuulira ekyo n'atulaga ebyasooka okubaawo? baleete abajulirwa baabwe baweebwe obutuukirivu: oba bawulire boogere nti Bya mazima.