Isaiah 44:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagoberezi be aba lubaale bonna bajja kuswala; abakola ebifaananyi bya balubaale bantu buntu. Kale bonna bakuŋŋaane, beesowoleyo; bajja kukubibwa entiisa, bonna wamu baliswaluka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi. N’ababazzi nabo bantu buntu. Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa. Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, banne bonna balikwatibwa ensonyi; n'abakozi nabo bantu buntu; bonna bakuŋŋaanyizibwe wamu, bayimirire; balitya balikwatirwa wamu ensonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli alikisinza alikwatibwa ensonyi. Ate nno abakola ebifaananyi ebyo bantu buntu, tebalinaayo kirala. Basaanye bonna baleetebwe, bayimirire wamu, bawozesebwe. Balitya era balikwatibwa wamu ensonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, banne bonna balikwatibwa ensonyi; n'abakozi ba mu bantu: bonna bakuŋŋaanyizibwe wamu, bayimirire; balitya balikwatirwa wamu ensonyi.