Isaiah 44:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweesi akwata ekyuma ky'ensinjo n'akyengereza ku manda; akolamu ekifaananyi n'ennyondo, n'akyola n'omukono ogw'amaanyi. Enjala emuluma, n'aggwaamu amaanyi; tanywa na ku tuzzi, n'ayenjebuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro. Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge. Enjala emuluma, n’aggwaamu amaanyi, tanywa mazzi era akoowa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuweesi ng'aweesa embazzi n'agiyisa mu manda n'agisennyenta n'ennyondo n'agisaaza n'omukono gwe ogw'amaanyi: weewaawo, ng'alumwa enjala amaanyi ge ne gaggwaawo; nga tanywa ku mazzi n'ayongobera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweesi ng'aweesa ekifaananyi ekisinzibwa, aleeta ekyuma, n'akifukutira mu manda, n'akikuba n'ennyondo, ng'akozesa omukono gwe ogw'amaanyi. Bw'amala ebyo olwo n'alumwa enjala, n'aggwaamu amaanyi. Bw'atanywa ku mazzi n'ayenjebuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuweesi ng'aweesa embazzi n'ayisa mu manda n'agisennyenta n'ennyondo n'agisaaza n'omukono gwe ogw'amaanyi: weewaawo, ng'alumwa enjala amaanyi ge ne gaggwaawo; nga tanywa ku mazzi n'ayongobera.