Isaiah 44:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubazzi assaako olukoba olupima n'alamba n'ekkalaamu, n'akikomola n'omusumeeni, n'akiramba n'eddiira. Akolamu ekifaananyi ky'omuntu, nga kirungi kya kitiibwa ng'omuntu, nga kya kutuula mu nnyumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo era n’alamba n’ekkalaamu. Akinyiriza ne landa, n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera, n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana, kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubazzi ng'aleega omugwa; ng'akiramba n'ekkalaamu; ng'akisaanya n'eranda n'akiramba kyonna n'ekyuma ekigera, n'akifaananya ekifaananyi ky'omuntu, ng'obulungi bw'omuntu bwe buli, okutuulanga mu nnyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye omubazzi aleega ku muti olukoba lwe olupima, n'agulamba n'ekkalaamu. Agulanda n'eranda, n'agupimisa ekyuma kye ekipima, n'agukolamu ekifaananyi ekirungi nnyini ekifaanana ng'omuntu, n'akiteeka mu ssabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)