Isaiah 44:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Atema entolookyo, oba sipulaasi, oba omuvule. Omuti yaguleka ne gukulira eyo mu miti mu kibira. Oba yasimba omuti gw'entolookyo enkuba n'eguliisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira, oba n’asimba enkanaga, enkuba n’egikuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga yeetemera emivule n'atwala enzo n'omuyovu, era yeenywerezaako ogumu ku miti egy'omu kibira: ng'asimba enkanaga enkuba n'egimeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayinza okutema enzo, oba alondawo okutema omuyovu, oba omuvule, mu kibira. Oba ayinza okusimba enkanaga, enkuba bw'etonnya n'egikuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga yeetemera emivule n'atwala enzo n'omuyovu, era yeenywerezaako ogumu ku miti egy'omu kibira: ng'asimba enkanaga enkuba n'egimeza.