Isaiah 44:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ne gufuuka oluku okuyamba omuntu; aggyako ekibajjo n'ayota, kw'akuma omuliro n'afumbisa n'emmere; era akolamu ne lubaale n'amusinza; ayolamu ekifaananyi n'akivunnamira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bagukozesa ng’enku, ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya. Akuma omuliro n’afumba emigaati. Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza, akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo eriba ya nku eri omuntu; n'agitwalako n'ayota; weewaawo, ng'agikoleeza n'ayokya omugaati: weewaawo, ng'akola katonda n'akisinza; ng'akola ekifaananyi ekyole n'akivuunamira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma omuntu oyo afunako enku. Atwalako, n'akuma omuliro, n'ayota, n'afumbisa n'emmere. Ekitundu ekisigaddewo n'akikolamu lubaale, n'amusinza; ekifaananyi ekyo ekyole n'akivuunamira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo eriba ya nku eri omuntu; n'agitwalako n'ayota; weewaawo, ng'agikoleeza n'ayokya omugaati: weewaawo, ng'akola katonda n'akisinza; ng'akola ekifaananyi ekyole n'akivuunamira.