Isaiah 44:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitundu ekimu akyokya mu muliro; ku kitundu ekirala n'afumbirako emmere, n'ayokerako ennyama, n'alya n'akkuta. Ayota n'okwota nga bw'agamba nti: “Otyo! mbugumye; ndabye ku kaliro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro, ekitundu ekirala akyokesa ennyama n’agirya n’akutta. Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti, “Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitundu kyakyo ng'akyokya mu muliro; ku kitundu kyakyo kw'aggya okulya ennyama; ng'ayokya njokye n'akkuta: weewaawo, ng'ayota n'ayogera nti Owa, mbugumye, ndabye omuliro:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enku ezimu azikumisa omuliro, endala n'azookesa ennyama n'alya, n'akkuta. Ayota omuliro, n'agamba nti: “Otyo, akaliro kalungi, kambugumizza!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekitundu kyakyo ng'akyokya mu muliro; ku kitundu kyakyo kw'aggya okulya ennyama; ng'ayokya njokye n'akkuta: weewaawo, ng'ayota n'ayogera nti Owa, mbugumye, ndabye omuliro: