Isaiah 44:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebitundu ebisigalawo n'akolamu lubaale __ ekifaananyi kye, n'akivunnamira, n'akisinza. Asaba gye kiri n'agamba nti: “Ndokola, kubanga ggwe lubaale wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda, ekifaananyi ekikole n’emikono, era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti, “Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ekitundu kyakyo ekifisseeko ng'akifuula katonda, ekifaananyi kye ekyole: ng'akivuunamira n'asinza n'akyegayirira n'ayogera nti Mponya; kubanga ggwe katonda wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ky'omuti ekifisseewo, n'akifuula lubaale. Ekifaananyi kye ekyole, n'akivuunamira, n'akisinza, n'akiwanjagira ng'agamba nti: “Mponya, kubanga ggwe lubaale wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekitundu kyakyo ekifisseeko ng'akifuula katonda, ekifaananyi kye ekyole: ng'akivuunamira n'asinza n'akyegayirira n'ayogera nti Mponya; kubanga ggwe katonda wange.