Isaiah 44:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebaamanya kantu, era tebategeera, kubanga yabaziba amaaso baleme kulaba; n'emitima gyabwe miggale tebasobola kutegeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera, amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba, n’okutegeera ne batayinza kutegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebamanyi so tebalowooza: kubanga azibye amaaso gaabwe n'okuyinza ne batayinza kulaba; n'emitima gyabwe n'okuyinza ne batayinza kutegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abo tebamanyi, era tebalowooza. Katonda azibye amaaso gaabwe n'emitima gyabwe, ne batayinza kulaba, wadde okutegeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebamanyi so tebalowooza: kubanga azibye amaaso gaabwe n'okuyinza ne batayinza kulaba; n'emitima gyabwe n'okuyinza ne batayinza kutegeera.