Isaiah 44:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali yeefumiitirizaako, tewali amanyi, yadde ategeera, asobola kugamba nti: “Ekitundu kyakyo nakyokya, ate ku manda gaakyo kwe nafumba emmere yange; kwe nayokera ennyama ne ndya, ate ekisigaddewo kye mba nkolamu lubaale, ekyenyinyalwa? Nvunnamire olukukku lw'omuti?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali n’omu ayimirira n’alowooza, tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti, “Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro, era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo, njokezzaako n’ennyama n’engirya. Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo? Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tewali ajjukira, so tewali kumanya newakubadde okutegeera n'okwogera n'ayogera nti Ekitundu kyakyo nkyokezza mu muliro, weewaawo, era nsiise omugaati ku manda gaakyo; njokezza ennyama ne ngirya: ate ekitundu kyakyo ekifisseeko n'akifuula eky'omuzizo? N'avuunamira ekisiki ky'omuti?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukozi w'ekifaananyi kya lubaale yeerabira, era tafumiitiriza, wadde okutegeera, asobole okugamba nti: “Ekitundu ky'omuti ogwo nkikumyeko omuliro, ne nfumba emmere ku manda gaakyo, era njokezza ennyama ne ngirya. Ekitundu kyagwo ekifisseewo, ate kye nnaafuula lubaale, nvuunamire ekitundu ky'omuti?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewali ajjukira, so tewali kumanya newakubadde okutegeera n'okwogera n'ayogera nti Ekitundu kyakyo nkyokezza mu muliro, weewaawo, era nsiise omugaati ku manda gaakyo; njokezza ennyama ne ngirya: ate ekitundu kyakyo ekifisseeko n'akifuula eky'omuzizo? n'avuunamira ekisiki ky'omuti?