Isaiah 44:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba, eyakukola, eyakubumba munda mu lubuto: Totya, ggwe omuweereza wange Yakobo, Omwagalwa, gwe neeroboza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo, eyakutonda era eyakubumba mu lubuto, ajja kukuyamba. Totya ggwe Yakobo, omuweereza wange, ggwe Yesuruni gwe nalonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakukola n'akubumba okuva mu lubuto, anaakuyambanga, nti, Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange; naawe Yesuluni gwe nnalonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama eyabatonda, eyababumba mu lubuto, era alibayamba ŋŋamba nti: Temutya, muli baweereza bange, abantu bange abalondemu be njagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakukola naakubumba okuva mu lubuto, naakuyambanga, nti Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange; naawe Yesuluni gwe nnalonda.