Isaiah 44:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alya vvu, endowooza enkyamu emuwubisa; takyasobola na kwenunula yadde okugamba nti: “Ekintu kino mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba, tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti, “Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alya evvu: omutima ogwalimbibwa gumukyamizza n'okuyinza n'atayinza kuwonya bulamu bwe newakubadde okwogera nti Eky'obulimba tekiri mu mukono gwange ogwa ddyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo omuntu aba ng'alya evvu. Aba yeerimba era ng'awabye, nga takyalimu keeyamba kuwonya bulamu bwe, wadde okwebuuza nti: “Ekifaananyi kye nkutte mu mukono gwange ogwa ddyo si kya bulimba bwereere?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alya evvu: omutima ogwalimbibwa gumukyamizza n'okuyinza n'atayinza kuwonya bulamu bwe newakubadde okwogera nti Eky'obulimba tekiri mu mukono gwange ogwa ddyo?