Isaiah 44:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjukiranga ebintu bino, ggwe Yakobo, kubanga oli muweereza wange, Yisirayeli; nze nakukola, oli muweereza wange; ggwe Yisirayeli sirikwerabira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo; oli muweereza wange ggwe Isirayiri. Nze nakubumba, oli muweereza wange, ggwe Isirayiri sirikwerabira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo; naawe Isiraeri, kubanga ggwe muweereza wange; nze nnakubumba; ggwe muweereza wange; ggwe Isiraeri, sirikwerabira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo, kubanga oli muweereza wange, ggwe Yisirayeli. Nakutonda obe muweereza wange. Ggwe Yisirayeli, sirikwerabira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo; naawe Isiraeri, kubanga ggwe muweereza wange: nze nakubumba; ggwe muweereza wange: ggwe Isiraeri, sirikwerabira.