Isaiah 44:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensobi zo nzeezeewo ng'ekire, n'ebibi byo nga kalenge; dda gye ndi kubanga nkununudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Njezeewo ebyonoono byo ne bivaawo ng'ekire, n'ebibi byo ne bivaawo ng'olufu; komawo gye ndi; kubanga nnakununula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Njezeewo ebibi byo ne bivaawo ng'ekire, n'ebyonoono byo ne biggwaawo ng'olufu. Komawo gye ndi, kubanga nakununula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nsangudde ebyonoono byo ng'ekire ekiziyivu, n'ebibi byo ng'ekire: komawo gye ndi; kubanga nakunnnula.