Isaiah 44:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi ggulu, yimba n'essanyu, kubanga Omukama y'akikoze; mmwe emisingi gy'ensi muleekaane; mmwe ensozi, musaakaanye ennyimba, nammwe ebibira na buli muti ogulimu, kubanga Omukama anunudde Yakobo, alaze ekitiibwa kye mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yimba n’essanyu ggwe eggulu kubanga ekyo Mukama yakikoze. Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi. Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu. Mukama anunudde Yakobo era yeegulumiriza mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yimba, ggwe eggulu, kubanga Mukama ye akikoze; mwogerere waggulu, mmwe enjuyi eza wansi ez'ensi; mubaguke okuyimba, mmwe ensozi, ggwe ekibira na buli muti ogulimu! kubanga Mukama yanunula Yakobo era alyegulumiriza mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe eggulu, yimba, kubanga Mukama ye akoze ekyo. Muleekaane mmwe ebitundu by'ensi ebyawansi. Mubaguke muyimbe mmwe ensozi; naawe ggwe ekibira, na buli muti oguli mu ggwe; kubanga Mukama yanunula bazzukulu ba Yakobo, era aliraga ekitiibwa kye mu Bayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yimba, ggwe eggulu, kubanga Mukama ye akikoze; mwogerere waggulu, mmwe enjuyi eza wansi ez'ensi; mubaguke okuyimba, mmwe ensozi, ggwe ekibira na buli muti ogulimu: kubanga Mukama yanunula Yakobo era alyegulumiriza mu Isiraeri.