Isaiah 44:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba, Omununuzi wo, eyakubumba mu lubuto: “Nze Mukama, eyakola byonna, eyabamba eggulu obw'omu, ne mmamba ensi; ani yali nange?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omulokozi wo, eyakutondera mu lubuto. “Nze Mukama, eyatonda ebintu byonna, eyabamba eggulu nzekka, eyayanjuluza ensi obwomu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, era eyakubumba okuva mu lubuto, Nze Mukama akola byonna; abamba eggulu nzekka; ayanjuluza ensi; ani eyali awamu nange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Omununuzi wo, era eyakubumba mu lubuto lwa nnyoko agamba nti: “Nze Mukama akola byonna. Nze nabamba eggulu obwomu, Nze nayanjuluza ensi, awatali yankwatirako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, era eyakubumba okuva mu lubuto, nti Nze Mukama akola byonna; abamba eggulu nzekka; ayanjuluza ensi; ani ali awamu nange?