Isaiah 44:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze afulula obubonero bw'abalanzi abalimba, abalaguzi ne mbafuula abasiru, abagezi ne mbakubya akaddannyuma, amagezi gaabwe ne ngafuula ebisassalala;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
asazaamu abalaguzi bye balagudde era abalogo abafuula abasirusiru. Asaabulula eby’abagezi n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
atta obubonero obw'abalimba era afuula abalogo abasirusiru; akyusa abagezigezi okudda emabega, n'amagezi gaabwe okuba obusirusiru;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze mmalawo ebyewuunyo ebikolebwa abalanzi ab'obulimba, abalogo ne mbafuula abasiru. Nze mmulungula ebigambo by'abagezi, ne ndaga nti bye bayita eby'amagezi, ddala biba bya busiru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
atta obubonero obw'abalimba era alalusa abalogo; akyusa abagezigezi okudda ennyuma ne nsiruwaza amagezi gaabwe: