Isaiah 44:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nze akakasa ekigambo ky'omuweereza wange, ne ntuukiriza enteesa y'ababaka bange; nze agamba Yeruzaalemu nti: ‘Balikusengamu’, n'ebibuga bya Yuda nti: ‘Birizimbibwa;’ n'ebifulukwa byabwe nti: ‘Ndikusitula buggya’;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anyweza ekigambo ky’omuweereza we n’atuukiriza obubaka bwa babaka bange. “Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’ ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’ ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
anyweza ekigambo eky'omuweereza we n'atuukiriza okuteesa kw'ababaka be; ayogera ku Yerusaalemi nti, “Kirituulwamu;” ne ku bibuga bya Yuda nti, “Birizimbibwa,” nange ndizzaawo ebifo byamu ebyazika;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nnyweza ebyogerwa omuweereza wange, ntuukiriza omubaka wange by'alangirira. Ŋŋamba nti Yerusaalemu kiribeeramu abantu, n'ebibuga bya Buyudaaya birizimbibwa buggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
anyweza ekigambo eky'omuweereza we ne ntuukiriza okuteesa kw'ababaka be; ayogera ku Yerusaalemi nti Kirituulwamu; ne ku bibuga bya Yuda nti Birizimbibwa, nange ndigolokosa ebifo byamu ebyazika: