Isaiah 44:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze ayogera ku Kuuro nti: ‘Oyo musumba wange;’ agenda kutuukiriza byonna bye nteesa; agenda kugamba ku Yeruzaalemu nti: ‘Olizimbibwa buto’; ne ku Kiggwa nti: ‘Kibangibwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange era alituukiriza bye njagala byonna.’ Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’ ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ayogera ku Kuulo nti, “Musumba wange, era alituukiriza bye njagala byonna;” n'okwogera ne njogera ku Yerusaalemi nti, “ Kirizimbibwa;” era agamba Yeekaalu nti, “Omusingi gwo gulizimbibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze njogera ku Kuuro nti ye mufuzi gwe ntaddewo, era alituukiriza byonna bye njagala. Nze ndagira Yerusaalemu nti: ‘Zimbibwa buggya,’ n'Essinzizo nti: ‘Emisingi gyo gizimbibwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ayogera ku Kuulo nti Musumba wange era alituukiriza bye njagala byonna: n'okwogera ne njogera ku Yerusaalemi nti Kirizimbibwa; era agamba yeekaalu nti Omusingi gwo guliteekebwawo.