Isaiah 44:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ndifukirira amazzi ku nsi erakasidde, n'emigga ku ttaka ekkalu; ndiyiwa Mwoyo wange ku bazzukulu bo, n'omukisa gwange ku baana bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu. Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo, era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka eririna ennyonta n'emigga ku ttaka ekkalu; ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo n'omukisa gwange ku nda yo:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ensi erakasidde ndigiwa amazzi; era ndikulukusa emigga ku ttaka erikaze. Ndifuka Mwoyo wange ku b'ezzadde lyammwe; n'omukisa gwange ndiguwa bazzukulu bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ndifuka amazzi ku oyo alumiddwa ennyonta n'emigga ku ttaka ekkalu: ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo n'omukisa gwange ku nda yo: