Isaiah 44:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu aligamba nti: ‘Ndi wa Mukama.’ N'omulala alyetuuma erinnya lya Yakobo, n'omundi aliwandiika n'omukono gwe nti: ‘Wa Mukama’, ne yebbulamu erinnya lya Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa Mukama,’ n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo, n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’ ne yeetuuma Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Walibaawo agamba nti, “Nze ndi wa Mukama;” n'omulala alyetuuma erinnya lya Yakobo; n'omulala aliwandiika ku mukono gwe nti wa Mukama, ne yeetuuma erinnya lya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Walibaawo agamba nti: ‘Ndi wa Mukama.’ Omulala alyetuuma erinnya lya Yakobo, n'omulala aliwandiika ku mukono gwe nti wa Mukama, ne yeebalira mu Bayisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Walibaawo aligamba nti Nze wa Mukama; n'omulala alyetuuma eriinya lya Yakobo; n'omulala aliwandiika n'omukono gwe nga wa Mukama, ne yeetuuma erinnya lya Isiraeri.