Isaiah 44:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba, Kabaka wa Yisirayeli, Omununuzi we, Omukama w'Amagye: “Nze mubereberye era nze muvannyuma; okuggyako nze teri katonda mulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we, Mukama Katonda ow’Eggye: Nze w’olubereberye era nze nkomererayo era tewali Katonda mulala we ndi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Kabaka wa Isiraeri, era omununuzi we Mukama ow'eggye nti Nze ndi wa lubereberye era nze ndi wa nkomerero; so tewali Katonda wabula nze
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Kabaka wa Yisirayeli era Omununuzi we, Mukama Nnannyinimagye, agamba nti: “Nze ntandikwa, era Nze nkomerero; era nzekka, Nze Katonda. Teri Katonda mulala, wabula Nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Kabaka wa Isiraeri, era omununuzi we Mukama ow'eggye nti Nze ndi wa lubereberye era nze ndi wa komerero; so tewali Katonda wabula nze.