Isaiah 44:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani ali nga nze? Akyasanguze; akirangirire, akinteeke mu maaso; ebyali bibaddewo okuva lwe nassaawo abantu ab'edda n'ebirijja nabyo abirage.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani afaanana nga nze, akirangirire, eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawo okuviira ddala ku ntandikwa? Leka batubuulire ebigenda okubaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ani afaanana nga nze? Akirangirire, leka akintegeeze, Ani yalangirira okuva edda ebyo ebinaabaawo? Kale batubuulire ebinaabaawo
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ani ali nga Nze? Bw'abaayo, akirangirire, akyogere, akiteeke mu maaso gange. Ani okuva edda, eyalangirira ebiribaawo? Kale abuulire abantu n'ebyo ebiribaawo gye bujja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ani, nga nze, aliyita n'akibuulira n'akinteekerateeera, kasookedde nzizaawo eggwanga ery'edda? n'ebyo ebijja okujja n’ebyo ebiribaawo babibuulire.