Isaiah 44:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke kutya yadde okutekemuka; kino saakibabuulira era ne nkirangirira okuva edda? Mmwe bajulirwa bange. Waliwo katonda omulala atali nze? Teri Lwazi; teri lwe mmanyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temutya wadde okuggwaamu amaanyi. Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja? Mmwe bajulirwa bange. Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda. Tewali Lwazi lulala, sirina lwe mmanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temutya so temutekemuka; ssaakirangirira ne ntegeeza ebigenda okubaawo? Nnammwe muli bajulirwa bange. Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Tewali Lwazi; nze sirina lwe mmanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temutya era temuggwaamu maanyi. Mumanyi ng'okuva edda n'okutuusa kati, mbabuulira ebiribaawo. Era mmwe bajulizi bange. Ate eriyo Katonda omulala okuggyako Nze? Nze nzekka Nze Lwazi omwewogomwa, simanyiiyo mulala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temutya so temutekemuka: obw'edda saakubuulira ne nkiraga? nammwe muli bajulirwa bange. Waliwo Katonda wabula nze? weewaawo, tewali Lwazi; nze siriiko lwe nmanyi.