Isaiah 44:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo bonna ababumba ebifaananyi bya balubaale, tebaliimu kantu, n'ebintu bye beeyagaliramu tebirina kye bibagasa; abandibajulidde tebalaba n'okutegeera tebategeera; ensonyi zandibakutte.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa, era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa. Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi, balyoke bakwatibwe ensonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abakola ebifaananyi ebyole bonna tebaliimu nsa; n'ebintu byabwe ebibasanyusa okukola tebirina kye bigasa; n'abajulirwa baabwe tebalaba so tebamanyi; balyoke bakwatibwe ensonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna abakola ebifaananyi ebisinzibwa, temuli kantu. N'ebifaananyi byabwe ebyo ebibeeyagaza, tebiriiko kye bigasa. N'ababisinza, tebalaba, era tebaliiko kye bamanyi, ne kye bakola, kibaswaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo abakola ekifaananyi ekyole bonna birerya; n'ebintu byabwe eby'okwesiima tebiriiko kye birigasa: n'abajulirwa baabwe bo tebalaba so tebamanyi; balyoke bakwatibwe ensonyi.