Isaiah 45:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba omusiige we, oyo Kuuro, gw'ayogerako nti: “Mmukutte ku mukono gwe ogwa ddyo, mmegguze amawanga mu maaso ge, bakabaka mbambule ebyokulwanyisa, enzigi nzimuggulirewo, emiryango gireme kuddayo kuggalibwa”:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta, oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo okujeemulula amawanga mu maaso ge era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe, okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso, emiryango eminene gireme kuggalwawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Mukama bw'agamba oyo gwe yafukako amafuta, Kuulo, gwe nkutte ku mukono gwe ogwa ddyo, okujeemula amawanga mu maaso ge, era ndisumulula ebiwato bya bakabaka; okuggulawo enzigi mu maaso ge ne ziwankaaki teziriggalwawo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yalonda Kuuro okuba kabaka, n'amutuma okujeemulula amawanga, n'okuggyako bakabaka obuyinza. Mukama alimuggulirawo emiryango gy'ebibuga ne wataba agiggalawo. Mukama agamba Kuuro oyo nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)