Isaiah 45:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba, Omutuukirivu wa Yisirayeli era eyamukola: Muyinza okumbuuza ku binajjira abaana bange, yadde okumpa amateeka ku mulimu gw'emikono gyange?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri era Omutonzi we nti, ‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja, oba ebikwata ku baana bange, oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri era Omutonzi we, nti, “ Muyinza okumbuuza ebigambo ebigenda okujja; ebya batabani bange, oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy'emikono gyange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Omutuukirivu wa Yisirayeli, era Omutonzi we, agamba nti: “Munambuuza ebigenda okujja, n'ebifa ku baana bange, oba okundagira eky'okukola?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri era Omukozi we, nti Mumbuuze ebigambo ebigenda okujja; ebya batabani bange, n'eby'omulimu gw'engalo zange mundagire.