Isaiah 45:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze nakola ensi, ne ntonderako n'omuntu; mikono gyange gye gyabamba olubaale, ne nnamunkukumbo yenna aliko ne mmuwa amateeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnakola ensi ne ntondera abantu mu yo; emikono gyange gyennyini gye gya bamba eggulu, era ne ndagira eby'omu bbanga byonna okutondebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze natonda ensi era n'abantu abagibeeramu. Nakozesa buyinza bwange, ne mmamba eggulu, era Nze nfuga ebyo ebiririko byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nakola ensi ne ntondera abantu mu yo: nze, engalo zange, nabamba eggulu, n'eggye lyalyo lyonna nze naliragira.