Isaiah 45:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze namusitusaawo mu butuukirivu, era ndimutereereza amakubo ge gonna. Alizimba buggya ekibuga kyange, n'abange abaawaŋŋangusibwa alibata, awatali kubanunuza ssente yadde ebirabo.” Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu era nditereeza amakubo ge gonna. Alizimba ekibuga kyange n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa; naye si lwa mpeera oba ekirabo,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmugolokosezza mu butuukirivu, era ndigolola amakubo ge gonna, alizimba ekibuga kyange, era aliteera ddala abantu bange abawaŋŋangusibwa, si lwa muwendo so si lwa mpeera, bw'ayogera Mukama ow'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Kuuro Nze mmulagidde asituke, ajje aluŋŋamye ebintu. Nditereeza amakubo gonna g'ayitamu. Alizimba buggya ekibuga kyange Yerusaalemu, era aliteera ddala abantu bange abaanyagibwa. Alikikola nga taguliriddwa, wadde okuweebwa empeera.” Mukama Nnannyinimagye ye ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmugolokosezza mu butuukirivu, era ndigolola amakubo ge gonna: alizimba ekibuga kyange, era aliteera ddala abange abaagobebwa, si lwa muwendo so si lwa mpeera, bw'ayogera Mukama ow'eggye.