Isaiah 45:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Obugagga bw'omu Misiri, ebyamaguzi by'omu Kuusi n'abasajja abawagguufu Abaseba, balijja gy'oli ne baba babo; balikugoberera, balijja batambulira mu mpingu, balikuvunnamira ne beegayirira naawe nga bagamba nti: ‘Katonda ali naawe, teri mulala; teri katonda mulala.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa, n’abo Abasabeya abawanvu balijja babeere abaddu bo, bajje nga bakugoberera nga basibiddwa mu njegere. Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti, ‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Omulimu gwe Misiri n'obuguzi bw'e Kuusi n'Abasabeya, abasajja abawanvu, balikusenga ne baba babo; balikugoberera; nga bali mu masamba balisenga; era balikuvuunamira balikwegayirira nga boogera nti, “Mazima Katonda ali mu ggwe; so tewali mulala, tewali Katonda mulala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba Yisirayeli nti: “Ebyobugagga bya Misiri, n'ebyamaguzi bya Kuusi, birifuuka bibyo. N'Abaseeba, abantu abawanvu, balikwewa, ne baba babo. Balikugoberera nga basibiddwa enjegere. Balijja w'oli, ne bakuvuunamira, ne bakwegayirira nga bagamba nti: ‘Mazima Katonda ali mu ggwe, era Ye yekka, ye Katonda, tewali mulala.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Omulimu gw'e Misiri n'obuguzi bw'e Kuusi n'Abasabeya, abasajja abawanvu, balikusenga ne baba babo; balikugoberera; nga bali mu masamba balisenga: era balikuvuunamira balikwegayirira nga boogera nti Mazima Katonda ali mu ggwe; so tewali mulala, tewali Katonda.