Isaiah 45:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama kino ky'agamba, oyo eyatonda eggulu, ye Katonda, eyabumba ensi n'agikola yennyini n'aginyweza; teyagikola ebeere njereere, wabula kusengwamu. “Nze Mukama, teriiyo mulala:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu, ye Katonda eyabumba ensi n’agikola. Ye yassaawo emisingi gyayo. Teyagitonda kubeera nkalu naye yagikola etuulwemu. Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama eyatonda eggulu; ye Katonda; eyabumba ensi n'agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu; nti Nze Mukama; so tewali mulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama eyatonda eggulu, ye Katonda. Ye yakola ensi n'agibumba. Yagikola n'aginyweza. Teyagitonda kuba njereere, yagibumba kubeeramu bantu. Ye wuuyo agamba nti: “Nze Mukama, era tewali mulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama eyatonda eggulu; ye Katonda; eyabumba ensi n'agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu; nti Nze Mukama; so tewali mulala.