Isaiah 45:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Soogeranga mu nkiso, awantu mu nsi ey'enzikiza. Sigambanga bantu ba Yakobo nti: ‘Munnoonyeze busa.’ Nze, Omukama, njogera kituufu, bye ŋŋamba biba bya mazima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Soogereranga mu kyama, oba mu nsi eyeekizikiza. Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti, ‘Munoonyeze bwereere.’ Nze Mukama njogera mazima, mbuulira ebigambo eby’ensonga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ssoogereranga mu kyama, mu kifo eky'omu nsi ey'ekizikiza; sigambanga zzadde lya Yakobo nti Munnoonyeze bwereere: nze Mukama njogera mazima, mbuulira ebigambo bya nsonga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Soogereranga mu kyama, mu nsonda y'ensi ey'ekizikiza. Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti: ‘Munnoonyeze bwereere.’ Nze Mukama, njogera mazima, mbuulira abantu ebituufu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Soogereranga mu kyama, mu kifo eky'omu nsi ey'ekizikiza; sigambanga zzadde lya Yakobo nti Munnoonyeze bwereere: nze Mukama njogera butuukirivu, mbuulira ebigambo bya nsonga.