Isaiah 45:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwogere, mwanje ensonga zammwe; ka bateese wamu. Ani kino eyakirangirira okuva edda? N'akiranga mu biseera ebyayita? Si nze Mukama? Ate teri katonda mulala okuggyako nze, Katonda omutuukirivu, Omulokozi; teri mulala okuggyako nze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe. Muteese muyambagane. Ani eyayogera nti kino kiribaawo? Ani eyakyogerako edda? Si nze Mukama? Tewali Katonda mulala wabula nze, Katonda omutuukirivu era Omulokozi, tewali mulala wabula nze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mubuulire era muleete ensonga zammwe; muteeseze wamu. Ani eyalanga ekyo okuva mu biro eby'edda? ani eyakibuulira okuva edda? si nze Mukama? so tewali Katonda mulala wabula nze; Katonda omutuukirivu era omulokozi; tewali mulala wabula nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwanjule empoza yammwe, n'abawolereza bammwe beegeyeze wamu. Ani yalanga okuva edda n'edda ekyo ekiribaawo? Si Nze Mukama? Tewali Katonda mulala okuggyako Nze, Omutuukirivu era Omulokozi. Tewali mulala, wabula Nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mubuulire mwolese; weewaawo, bateese wamu: ani eyalanga ekyo okuva mu biro eby'edda? ani eyakibuulira okuva edda? si nze Mukama? so tewali Katonda mulala wabula nze; Katonda omutuukirivu era omulokozi; tewali mulala wabula nze.