Isaiah 45:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balinjogerako nti: ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n'amaanyi.’ Bonna abanaamuwakanyanga banajjanga gy'ali ne baswazibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’ ” Bonna abaamusunguwalira balijja gy’ali nga baswadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Walibaawo aliŋŋamba nti, “mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n'amaanyi; eri oyo abantu gye balijja, n'abo bonna abaamusunguwalira balikwatibwa ensonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Baligamba nti mu Nze Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n'amaanyi. Naye bonna abankyawa, balikwatibwa ensonyi ne baswala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Walibaawo aliŋŋamba nti mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n'amaanyi: eri oyo abantu gye balijja, n'abo bonna abaamusunguwalira balikwatibwa ensonyi.