Isaiah 45:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukuwa obugagga obw'omu nzikiza, obugagga obutereke mu nkiso, olyoke omanye nti: Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli akukowoola ng'akuyita erinnya lyo, ne nkulamba sso nga ggwe tomanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama olyoke omanye nga nze Mukama, Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ndikuwa obugagga obw'omu kizikiza n'ebintu ebyakwekebwa ebiri mu bifo eby'ekyama, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda wa Isiraeri, akuyita erinnya lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikuwa obugagga obukwekeddwa mu kizikiza mu bifo eby'ekyama, olyoke omanye nga Nze, Mukama, Katonda wa Yisirayeli, Nze nkuyita erinnya lyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndikuwa obugagga obw'omu kizikiza n'ebintu ebyakwekebwa ebiri mu bifo eby'ekyama, olyoke omanye nga ndi Mukama akuyita erinnya lyo, Katonda wa Isiraeri