Isaiah 45:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera omuweereza wange Yakobo, ne Yisirayeli omulondemu wange, nakukoowoola nga nkuyita erinnya lyo, ne nkulamba, sso ggwe nga tommanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange kyenvudde nkuyita erinnya, ne nkuwa ekitiibwa wadde nga tonzisaako mwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isiraeri omulonde wange; kyenvudde nkuyita erinnya lyo, nkutuumye erinnya newakubadde nga tommanyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'omuweereza wange Yakobo, Yisirayeli omulondemu wange, nkuyitidde ddala linnya lyo. Nkutuumye erinnya newaakubadde nga ggwe tommanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lwa Yakobo omuweereza wange kyenvudde nkuyita erinnya lyo: nkutuumye erinnya newakubadde nga tommanyanga.