Isaiah 45:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abantu, okuva ebuvanjuba okutuusa enjuba gy'egwa, bamanye nti teri mulala okuggyako nze; nze Mukama, era teri mulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda tewali mulala wabula nze. Nze Mukama, tewali mulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
balyoke bamanye okuva ebuvanjuba n'okuva ebugwanjuba nga tewali wabula nze; nze Mukama so tewali mulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino nkikoze, bonna balyoke bamanye okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, nga Nze nzekka, Nze Mukama, tewali mulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
balyoke bamanye okuva ebuvanjuba n'okuva ebugwanjuba nga tewali wabula nze: nze Mukama so tewali mulala.